‘Zanie Brown, ekizinga ky’obulungi’ – Chris Evans Kaweesi

#Wolokoso;
Omuyimbi Chris Evans Kaweesi avuddeyo n’awandiikira muyimbi munne Zannie brown ebbaluwa;
Ebbaluwa eri Zanie Brown.

Ow’omukwano Zanie Brown, ekizinga ky’obulungi!

Olunaku olwaleero nvuddeyo mu lwatu okusiima n’okutegeeza nti gwe muyimbi asinga obulungi mu bayimbi abakyala mu Yuganda.

Simanyi bw’okikola! Osigala oli mulungi ne bwoba wekozeeko oba nga tewekozeeko.

Kankutegeeze leero nti buli kifaananyi kyo ky’oteeka ku social media nkiwanulayo nenkitereka mu ssimu yange nga ekijjukizo.

Abayimbi abakyala abalala balungi, naye ndowooza nabo bakiriza nti obasingako.

Nzikiriza nti nebwewalibadde muddugavu, walisigadde oli mulungi, ng’oyakayakana

Eggandaalo kya wiiki eddungi.
Chris Evans Kaweesi.

Zeen is a next generation WordPress theme. It’s powerful, beautifully designed and comes with everything you need to engage your visitors and increase conversions.

More Stories
‘njagala pulezidenti asasule oluyimba lwange lweyatwala’ – kaweesa