Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule tukulinze wano e Bukoto ku Simba ennaku zonna.
News: Eggwanga lyabantu eritawena, omusajja yenna okuwasaayo omukazi alina kutwalayo musota singa gumulema okuwaayo omukazi aba amusubiddwa.
News: Gasimbagane-Rwomushana-Ku mwenge Balaam atuuse wayabikira, byakola biweddeyo. Express way saga…..
Zaake ayitiddwa annyonyole engeri gyeyatoloka mu kaduukulu mu Arua
November 17, 2018 · Mubiru Ali
Director wa CID AIGP Grace Akullo avuddeyo n’awandiikira Omubaka Zaake Francis Butebi owa Munisipaali y’e Mityana nga ayita mu Mukubiriza w’olukiiko olukulu olw’eggwanga Rebecca Alitwala Kadaga nga amwetaaga yeyanjule annyonyole ku misango ebiri okuli; Ogw’okulya mu nsi ye olukwe gweyadiza mu Arua saako n’omusango ogw’okutoloka mu kaduukulu ka Poliisi mu Arua. Ono asabiddwa okugendayo nga 21-11-2018 ku ssaawa ssatu ez’okumakya.