Zaake akakiiko k’empisa kamuwadde olunaku 1

Pinterest LinkedIn Tumblr +
Akulira akakiiko ka Palamenti akakwasisa empisa Hon. Abdu Katuntu, awadde Bannamateeka b’Omubaka Munnakibiina kya National Unity Platform MP Zaake Francis Butebi olunaku lumu lwokka okuteekateeka okwanukula kwabwe ku bigambo omuntu waabwe byeyawandiika ku mumuyuuka wa Sipiika Anitah Among.
Wabula ye Omubaka Zaake bwabadde yewozaako ategeezezza nti bino byonna ebikolebwa nti banoonyereza tebigenderera kuzuula mazima, nti wabula bagenderera kumusiba miguwa bamukube n’oluvannyuma bamuwanike ku muti oluvannyuma bagambe nti yetuze okusobola okutuukiriza emboozi yaabwe.
Hon. Zaake, akiikiriddwa Bannamateeka babiri okuli; Eron Kiiza ne Benjamin Katana, akalambidde nti ebimuvunaanibwa tebirina mitwe namagulu.
Share.

Leave A Reply