Breaking
News: Bishop wa North Karamoja Diocese, Rt. Rev. News: Musveni toli mubi nnyo okutuuka ku ssa eryo, naye tukukolere ki otuviire mu mirembe Ssebo – Abdallah News: Mukulu Odonga Otto CV nga nnene gyataddewo, kati ayagala Hon. Daudi Kabanda ayanukule ki?
ON NOW Simba Taxi ▶ UP NEXT Ebyemizannyo 1:00 PM - 2:00 PM
Now Playing ยท 633 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Taxi

Connie Nalugwa

Mid MORNING SHOW 10:00 AM - 1:00 PM

Yuganda y’ensi esingamu emirembe mu ttundutundu lino – CP Fred Enanga

November 16, 2021 · Mubiru Ali

Omwogezi wa Uganda Police Force CP Fred Enaga; “Twekeneenyezza akatambi mwetulabidde omusajja eyetulisirizzaako bbomu nafiirawo n’abantu abalala babiri ku bulumbaganyi obubadde ku CPS mu Kampala. Balumiramwoyo abalala 2 bakwatiddwa kkamera enketta bikolwa nga batambulira ku piki piki nga befudde aba booda booda nebategulula bbomu ezibatiddewo ku Parliamentary Avenue.

Tulina gwetukutte nga ye Mozey limiramwoyo gwetugobye okutuuka kumpi ne Bwaise wetumukwatidde. Tusanze bomb jacket mu makaage e Nansana. Tugenda kukola kyonna ekisoboka okulaba nti obulumbaganyi nga buno tebuddamu mu naku ezinaddako. Tubasaba okuba abasaale ennyo okulaba nti tulwanyisa obutujju buno. Obulumbaganyi ku bulamu bwa Bannayuganda okuva eri omulabe ffenna gwetumanyi, tukolere wamu okulwanyisa obutujju buno. Yuganda y’ensi esingamu emirembe mu ttundutundu lino, era kino okuba ssi nsobi. Tubakakasa nti tugenda kukola kyonna ekisoboka okumalawo obutujju buno.”