Breaking
News: Awali Omukka-Ssewandagi-Balaam okuswaza Nameere Omuganda ogenderera ki? Obikola eno ate e Bunyoro? News: Yiino kkampuni ekoze tisaati ngomuntu ogyambalira omwezi gumu nga tagyozezza. News: Gasimbagane-Rwomushana-UPDF okugenda e Gaza tugenda mu bulabe. Ente okufa obutwa, Govt eriwa?
ON NOW Lutaba Njaliire ▶ UP NEXT Awali Omukka 9:00 PM - 12:00 AM
Now Playing · 105 listening Simba FM Live
lutaba show photo

On Air

Lutaba Njaliire

Mubiru Ali

4:00 PM - 8:00 PM 4:00 PM - 8:00 PM

Yuganda yeetaaga kununulwa – Dr. Besigye

October 6, 2016 · Mubiru Ali

Eyakwatira ekibiina kya FDC  bendera mu kuvuganya ku ntebe y’obwa Pulezidenti, Col. Dr. Kizza Besigye agamba nti eggwanga lyattu Yuganda  lyetaaga okununulwa kisobole okuyamba bannansi wamu n’eggwanga okutwaliza awamu .

Ng’ayogerako ne Bannamawulire mu maka ge e Kasangati, Dr.  Kizza Besigye agamba nti mu nkyukakyuka eno , abo bonna abali mu Gavumenti abavaabidde ebintu by’eggwanga bagende nebyebavaabidde naye nga bannayuganda basigazza obuyinza .

Wano Dr. Besigye awaddewo n’eky’okulabirako eky’eggwanga lya South Africa nga enkola eno ekoledde ddala bulungi era ng’agamba nti amawanga g’ebweru gasobola bulungi okuyamba eggwanga Yuganda  okufuna enkyukakyuka .

Col .  Besigye era asinzidde mu lukungaana luno n’ategeeza nti enkola ya Pulezidenti Museveni efuuse kookolo atandise okubuna amawanga amalala .