Breaking
News: Okwewandiisa mu Ngule kwaguddwawo e Bukoto ku Simba ate kwabwereere. News: IGG agudde emisango ku Chris Obore ne banne abalala 6 era nasaba basindikubwe mu Kkooti Enkulu bavunaanibwe emisango egyekuusa ku bukenuzi News: Awali Omukka-Ssewandagi-Balaam okuswaza Nameere Omuganda ogenderera ki? Obikola eno ate e Bunyoro?
ON NOW Emboozi Kafunda Live ▶ UP NEXT Olutindo 7:00 PM - 8:00 PM
Now Playing · 302 listening Simba FM Live
emboozi show photo

On Air

Emboozi Kafunda Live

Kalebule

6:00 PM - 7:00 PM 6:00 PM - 7:00 PM

Yuganda yaakuva mu kkooti y’ensi yonna – Kutesa

February 3, 2017 · Mubiru Ali

Minisita avunaayizibwa ku nsonga z;ebweru w’eggwanga, Sam Kahamba Kuteesa agamba nti kkooti etaawulula enkaayana z’amawanga agali ku ssemazinga wa Afirika yaweebwa obuyinza okukola ku nsonga ezeekuusa ku kulinnyirira eddembe ly’obuntu wamu n’ensonga endala nnyingi, yensonga lwaki eggwanga lyattu Yuganda ligenda kuva mu kkooti y’ensi yonna. 

Kuteesa agamba nti kkooti eno etaawulula enkaayana z’amawanga g’ Africa esobola okuba ey’amaanyi era eweereza obulungi ennyo n’okusinga ey’ensi yonna singa tugyongeramu amaanyi n’okugissaamu ensimbi.

Minisita bwatuuse ku ky’abanoonyi b’obubudamo, n’ategeeza nti Yuganda erina abantu abanoonyi b’obubudamu abakunukkiriza eyo mu kakadde olw’enteekateeka ennungi  eriwo mu ggwanga  gyebali .

Bino abyogeredde ku ssengejjero lya Gavumenti erya mawulire mu Kampala  – Uganda Media Centre.