Breaking
News: Bobi Wine erinnya lya Ssentamu lya lugero oluggwayo nti? Ku myaka 64 egyamefuga M7 afuzeeko emeka? News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya etinta era ekyatinta. News: Tubaagaliza olunaku lwamefuga olulungi.
▶ UP NEXT Wolokoso 9:00 AM - 10:00 AM
Now Playing ยท 202 listening Simba FM Live

Yuganda etandise okukola emotoka eza bullet proof

July 28, 2022 · Mubiru Ali
Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni: “Ngabagoberera bulungi amagezi n’okuwabulwa kwa National Resistance Movement – NRM eri obukulembeze bw’eggye lya UPDF, ndi musanyufu okubategeeza nti bingi bituukiddwako wakati wa NEC n’amakampuni agobwannanyini.
E Nakasongola olunaku lw’eggulo natongozza ekifo ekikola amasanyalaze okuva mu maanyi g’enjuba agaweza Kirowaati 500, ekkolero lya ‘surgical masks’ ne Sanitizer, ekifo ekikola oxygen ne nitrogen wamu n’ekkolero ly’emotoka eza bullet proof. Nalambudde n’emotoka empya eza Kayoola ezakoleddwa Kiira Motors.
Kati nkikakasizza nti Bannassaayansi baffe bakola omulimu ogw’ettendo mukukola ebintu ebiri ku mulembe ebisobola okutusobozesa okuyimirirawo ku lwaffe si mu byamaggye byokka wabula ne mubintu ebirala.”