Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule tukulinze wano e Bukoto ku Simba ennaku zonna. News: Eggwanga lyabantu eritawena, omusajja yenna okuwasaayo omukazi alina kutwalayo musota singa gumulema okuwaayo omukazi aba amusubiddwa. News: Gasimbagane-Rwomushana-Ku mwenge Balaam atuuse wayabikira, byakola biweddeyo. Express way saga…..
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing ยท 463 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM

yuganda egobye abagwiira babiri

January 22, 2019 · Mubiru Ali

Amyuka omwogezi wa Poliisi ACP Polly Namaye afulumiza ekiwandiiko nga ategeeza Bannayuganda nga ebitongole by’ebyokwerinda wamu nabakungu abavunaanyizibwa ku ntambula z’abantu mu Ggwanga bwebakola obwezizingirire okulaba nti Yuganda yewala abatujju.Bano basobodde okulondoola abagwiira babiri nga bano babadde bakola ne Kkampuni y’amasimu eya MTN Uganda nga bano babadde benyigira mu bikolwa ebiteeka eby’okwerinda by’eggwanga mukatyabaga. Bano kuliko Oliver Prentout MTN Uganda Chief Marketing Officer munnansi wa Bufalansa ne Annie Tabura General Manager for Sales and Distribution munnansi wa Rwanda. Bano baddiziddwa munsi zaabwe nga babadde bakozesa emirimu gyaabwe okutuukiriza ebiruubirirwa byabwe ebikyaamu.

Amyuka omwogezi wa Poliisi ACP Polly Namaye afulumiza ekiwandiiko nga ategeeza Bannayuganda nga ebitongole by’ebyokwerinda wamu nabakungu abavunaanyizibwa ku ntambula z’abantu mu Ggwanga bwebakola obwezizingirire okulaba nti Yuganda yewala abatujju.Bano basobodde okulondoola abagwiira babiri nga bano babadde bakola ne Kkampuni y’amasimu emu mu Ggwanga nga bano babadde benyigira mu bikolwa ebiteeka eby’okwerinda by’eggwanga mukatyabaga. Bano kuliko Oliver Prentout munnansi wa Bufalansa ne Annie Tabura munnansi wa Rwanda. Bano baddiziddwa munsi zaabwe nga babadde bakozesa emirimu gyaabwe okutuukiriza ebiruubirirwa byabwe ebikyaamu.