Breaking
News: Musveni toli mubi nnyo okutuuka ku ssa eryo, naye tukukolere ki otuviire mu mirembe Ssebo – Abdallah News: Mukulu Odonga Otto CV nga nnene gyataddewo, kati ayagala Hon. Daudi Kabanda ayanukule ki? News: Gen. Kahinda Otafiire Lwakiri nfiira ku magulu nga nnwana okusinga okuwangaalira ku maviivi gange nga nsaabiriza….
ON NOW Awali Omukka
Now Playing · 307 listening Simba FM Live
awali show photo

On Air

Awali Omukka

Prossy Kyeswa

Talk Show 9:00 PM - 12:00 AM
News

Yogaayoga ayi Ssaabasajja

August 1, 2023 · Mubiru Ali

Ffe – Abakozi, Bannanyini wamu nabaddukanya Leediyo Simba, tuyozaayozza Omwana wa Nabijjano Nnantasibwamuge Nnantetooloolwa Makulagabuganda Muzzaŋŋoma Mwennyango Liisolyampungu Lukeberwa Luwangula Kaamulali Kalalankoma Kabwejungira Omutanda Omuteregga Omuteesa Ssanyulyabuganda Ssalambwa Ssebintu Ssaabalongo Bbaffe Beene Bukaajumbe Ronald Muwenda Mutebi II okuwezza emyaka asatu ng’oteredde ku Nnamulondo ya Bajjajjaabo ng’olamula Obuganda, ebirungi byetufunye ku mulembe gwo tebirojjeka. Ggundaggunda Wangaalawangaala Wokotawokota Wogolawogola Seeteeraseeteera Siisiirasiisiira Landalanda Lemeeralemeera talaagatalaaga. Alikutambaala tulimuyoola ne tumukasuka mu nnyanja goonya ne zimugabana ate era alikusongamu olunwe tulimukwata ne tumufunya ng’eddiba ly’ensolo ne tumunyugunnya mu kamwa ka ttimba n’amumira. Ddunda Nnamugereka kuuma Empologoma ya Buganda.