Breaking
News: Anaggulangawo ebbaala nga ssaawa mwenda ezolweggulo tezinnawera kanamujjuutuka – Minisita Balaam News: Okwewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso wano e Bukoto ku Simba. News: Hon. Emmanuel Rwashande Munnakibiina ki National Resistance Movement
ON NOW Mukulikeeyo ▶ UP NEXT Emboozi Kafunda Live 6:00 PM - 7:00 PM
Now Playing · 259 listening Simba FM Live
mukulikeeyo show photo

On Air

Mukulikeeyo

Kasagazi Tumbeetu - Flosh

Evening show 4:00 PM - 6:00 PM

Yinginiya atanziddwa emitwalo 40.000 lwakusaalimbira mu muddo gwa KCCA

June 14, 2017 · Mubiru Ali

Eng. atanziddwa emitwalo ena mu kkooti yooku City Hall nga ono asingisiddwa omusango gw’okutambulira mu muddo ogwasimbibwa KCCA ku mabbali g’oluguudo. 

Mukuye Swazi nga mutuuze w’e Gayaza yagombeddwamu obwala olunaku lwa jjo okuva eri abakwasisa amateeka mu KCCA nga atambulira mu muddo,  olwaleero alabiseeko mu maaso g’omulamuzi  w’eddaala erisooka mu kkooti yooku City Hall, Moses Nabende n’akkiriza omusango guno.

Omulamuzi Nabende bwatyo alagidde omusajja ono atanzibwe emitwalo ena (40.000) era nga singa abadde tasobola kuzisasula abadde agenda kusibwa mu kkomera e Luzira akulunguleyo ennaku abiri kubanga omulamuzi ategeezezza nti omuddo guno gulabirirwa ku nsimbi y’omuwi w’omusolo.