Breaking
News: Eggwanga lyabantu eritawena, omusajja yenna okuwasaayo omukazi alina kutwalayo musota singa gumulema okuwaayo omukazi aba amusubiddwa. News: Gasimbagane-Rwomushana-Ku mwenge Balaam atuuse wayabikira, byakola biweddeyo. Express way saga….. News: Ba Directors, Management nAbakozi ba Radio Simba tutuusa okusaasira kwaffe eri abenju ya Alex Mukulu atuvudde ku maaso.
ON NOW Emambya ESaze ▶ UP NEXT Binsangawano 6:00 AM - 10:00 AM
Now Playing Simba FM Live
emambya show photo

On Air

Emambya ESaze

Kakos Soldier

Waking you up very early, with thrilling stories… 4:00 AM - 7:00 AM

Yewambye afune ssente

August 28, 2018 · Mubiru Ali

Poliisi e Nansana ekutte Jane Francis Nampijja 23 nga muyizi ku ttendekero erya Makerere lwakwewamba nasaba obukadde 5 okuva mu mikwano ggye mbu bamutte.

Ono nga mutuuze we Nsumbi, Kyebando Nansana Municipality mu Wakiso yabula mu maka g’abakadde be ku lw’omukaaga ku makya natandika okuweereza mikwano gye obubaka nga akozesa essimu nga abategeeza nga bwawambiddwa era nga absaba ssente.

Bazadde be badukidde ku Poliisi y’e Nansana nebagulawo omusango ku file nnamba SD REF: 73/25/08/2018.

Poliisi y’e Nansana  yatandikiddewo okukola okunoonyereza bwetyo nemusanga Mark Cottages gyeyabadde apangisizza ekisulo. Yagambye nti yabadde ayagala kufuna ssente zanakyakazaamu banne.