Breaking
News: Okwewandiisa mu Ngule kwaguddwawo e Bukoto ku Simba ate kwabwereere. News: IGG agudde emisango ku Chris Obore ne banne abalala 6 era nasaba basindikubwe mu Kkooti Enkulu bavunaanibwe emisango egyekuusa ku bukenuzi News: Awali Omukka-Ssewandagi-Balaam okuswaza Nameere Omuganda ogenderera ki? Obikola eno ate e Bunyoro?
ON NOW Emambya ESaze ▶ UP NEXT Binsangawano 6:00 AM - 10:00 AM
Now Playing · 205 listening Simba FM Live
emambya show photo

On Air

Emambya ESaze

Kakos Soldier

Waking you up very early, with thrilling stories… 4:00 AM - 7:00 AM

Wuuno ow’emyaka 40 agamba nti mutabani wa Pulezidenti Museveni

April 3, 2017 · Mubiru Ali

Waliwo omusajja ow’emyaka ana (40) agamba nti mutabani wa Pulezidenti Museveni addukidde mu b’amawulire nga agamba nti bebayinza okutuusa obubaka bwe eri Pulezidenti Museveni ensonga ye n’ekoleebwako nga bwekigwanidde.

Omusajja ono Benon Karebere agamba nti Pulezidenti Museveni ye kitaawe era nti  yazaalibwa mu mwaka gwa 1977 ku kyalo Rwashemire ekisangibwa mu Disituliiti y’e Ntungamo nga mu kiseera kino Pulezidenti  Museveni weyakulemberera abayeekera abaali bava e Tanzania okusindiikiriza Gavumenti ya Idi Amini.

Agamba nti ye teyeetaaga nsimbi wabula kumanyibwa nti mwana wa Pulezidenti Museveni.