🚨 Wuuno omukyala atasiba zikweya agambibwa okubba motoka mu Parking.
Nakabira Christine nga mutuuze w’e Kizawula zone e Gayaaza yasimbiddwa mu Kkooti ya Buganda Road navuunanibwa omusango gw’okubba emotoka ekika kya Harrier nnamba UAR 422F nga ya Munnamateeka Leticia Nanyomo.
Kigambiwa nti Nakabira bweyamala okubba emotoka eno nagikyuusa ne nnamba zaayo olwo nagitunda.
Asindikiddwa ku alimanda e Luzira.
Bya Christina Nabatanzi
🌐 Soma ebipya: https://www.radiosimba.ug

