🚨 Waswa Peter akwatiddwa Uganda Police Force nga kigambibwa nti yeyali avuga loole ekika kya Sino Truck eyatomera Takisi e Nkoowe mu Disitulikiti y’e Wakiso omwafiira abantu 2 okwali ddereeva wa Takisi ne Kkondakita we ssaako n’okulumya abantu abalala 9. Poliisi egamba nti ono wakutwalibwa mu Kkooti essaawa yonna avunaanibwa emisango egyenjawulo.
🌐 Soma ebipya: https://www.radiosimba.ug

