Breaking
News: Gaagano amawanga gabantu nga go gasinga kwagala basajja baavu okuwasa bawala baabwe kuba abasajja abaavu balina kye babafunamu ekinene ennyo. News: Gasimbagane-Rwomushana-Buli yegaanye nti tamanyi Muwanga gyali Kati yavuddewa? Yeyetutte ku Poliisi? News: Ku Mutoto Cultural Centre batongozza okusala Imbalu omwaka guno nga kino kyakukolebwa okutuusa December.
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing · 162 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM

Wandibaawo ekkobaane ku kwokya amasomero mu Kampala – Erias Lukwago

March 1, 2022 · Mubiru Ali
Loodi mmeeya w’ekibuga Kampala Erias Lukwago avuddeyo nategeeza nti wetaaga wabeewo okunoonyereza okw’amaanyi ku muliro ogukwata amasomero kuba kyandiba nga waliwo ekkobaane ku muliro guno mu Kampala nga kirabika waliwo abali emabega wadde nga ekigendererwa kyabwe tekinamanyika.
Lukwago agamba nti tewali kubuusabuusa okusinziira ku ngeri omuliro guno gyeguzze gubalukawo ku masomero okuli Kibedi School mu Kawempe, Good Times e Kawaala kwossa erya Bilal Islamic School e Bwaise n’amalala waliwo olukwe olupange nga kyetaagisa Uganda Police Force okusitukiramu mangu ebeeko ky’ekola okutaasa embeera.