Waliwo ekisolo ekirumbye e Bukasa

Pinterest LinkedIn Tumblr +

Abatuuze abawangalira ku kyalo Bukasa ekisangibwa mu muluka gwe Kirinya mu Bweyogerere Division, Kira municipality mu district ye Wakiso basula ku Bunkekke oluvanyuma lwe kisolo ekiteberezebwa okubeera Engo okubazingako ne kibattira ebisolo kwosa nokwonona ebirime.

Abatuuze bano bano bagamba ekisolo kino kino kirudde nga bakibononera ebitooke kwosa nokutta embwa ku kyalo nga kumulundi guno mukiro ekyakeseza leero kyakidde enyana y’ente eya mutuuze munabwe Deborah Bekenya ne kigyitta nekijjinuunamu omusayi nerya nomutima oluvanyuma ne yeyongerayo.

Abamu ku batuuze bagamba yandiba Engo kubanga olusi etambula ne byaana byayo era eteberezebwa okuva mu kitoogo kye Namanve ekinene ekigatta ku L.Victoria.

Omukyala Deborah Bukenya ngono ensolo eyogerwako gweyatidde Ennyana atubulidde engeri ekisolo kino gyekyabalumbyemu ekiro.

Ssentebe we kitundu Bukasa Kaddu John awanjagidde gavumenti okubataasa kubanga ekisolo kino kyataandikira ku birime ne kidda ku Mbwa okutta kati kyasse Ente kyandizaako abantu.

Oluvanyuma ab’ekitongole ekivunanyizibwa ku bisolo byomunsiko ki Uganda wildlife Authority batuuse okuzuula ekituufu batandikidde mukulondola buufu bwansolo eno ne wankubadde tebajjirabyeko naye beyamye okukolaganira awamu nabatuuze.

Wabula babalabudde obutagezako gyitta kubanga guba musango gwanaggomola.

Share.

Leave A Reply

instagram volgers kopen volgers kopen buy windows 10 pro buy windows 11 pro