Breaking
News: Bano tebatumalira budde tebali ku mutindo gwa Ngule. JJ agobye abakontanyi ebibuuzo bibalamye! News: Bano Engule ya Radio Simba bajja kugirojja obulamu bwonna! News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya teggwa kutinta ne leero girindirire ku nnya ekiro ngabakontanyi nendukusa zaabwe nga bafaafaagana
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing · 351 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM
News

Waliwo eddwaliro erikyamanja obukadde 15 olw’okujanjaba Ssimbwa – Dr. Besigye

January 29, 2024 · Mubiru Ali

Munnakibiina kya Forum for Democratic Change Rtd. Col. Dr. Kizza Besigye avuddeyo ku Moses Ssimbwa; “Amazima gal nti Moses Ssimbwa mumanyi nnyo era ayise mu bingi ebitiisa! Nkikakasa bulungi awatali kwekuba ndobo nti Ssimbwa yali mulwanirizi wa ddembe Munnakibiina kya FDC e Jinja era yatuuka ku bingi olwokubeera kino.

Bwaba nga yafuna akabenje akabulijjo lwaki amaze emyaka nga tajanjabwa? Bweyalabikira mu mwoleso gwokulinyirira eddembe ly’obuntu nebalyoka bamutuukirira nebamutwala mu Ddwaliro ly’amaggye e Bombo, awo olugendo lwe olwokwetonda werwatandikira! Nkyabangibwa obukadde 15 mu Ddwaliro eryobwannanyini eryataasa obulamu bwe! Ndi musanyufu nti abasibira mu bbwa aba National Resistance Movement – NRM bayigiriziddwa okulaba nti bamu obuyambi era mwagaliza birungi byereere.”