Waliwo ebigezo bya S.4 ebyasomoddwa – UNEB

Pinterest LinkedIn Tumblr +

Ekitongole ekivunaanyizibwa ku by'ebigezo mu ggwanga – Uganda National Examinations Board  (UNEB)  kigamba nti kimaze okufuna amawulire nti ebigezo ebikolebwa ebya S.4 ebyakamalirizo byasomoddwa.

Amawulire gano galaga nti waliwo ebigezo ebimu ebyatuuse ku bayizi nga obudde obubikola tebunnatuuka era nebayingira ekigezo nga baabirabye dda.

Ekitongole kigamba nti kufungizza nga kikolagana n'ebitongole by'ebyokwerinda okuzuula ensibuko y'ofuluma kw'ebibuuzo bino nga byayise ku mikutu gya mbikkulirwakumanya era nti baliko bebamaze okugombamu obwala so nga n'okuneenyereza kugenda mu maaso.  

 

 

Share.

Leave A Reply