Breaking
News: Akabonero kEngule kaba kakutuuyunira baaba. Muzeeyi alajanidde Endukusa emutaase! Engule 2026 News: Omusirikale wa Uganda Police Force ngakolera mu kitongole kya Flying Squad mu Albertine Regional Police Headquarters eyakwatibwa ku katambi nga News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya yo tegaana kutinta nokuyigiriza ne leero ekiro ku nnya lindirira Abakontanyi nendukusa zaabwe nga
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing · 181 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM

Waliwo bangi abatatambulidde mu motoka – HM Elite High School – Entebe

May 7, 2024 · Mubiru Ali
Omukulu w’essomero lya ELITE HIGH School -Entebbe Lawrence Onyango agamba nti tewali kyakoleddwa kiwaawaza matu kuba amasomero mangi mu Ggwanga agakola obubaga nga buno era bingi ebikolebwa nti ne Minisitule y’Ebyenjigiriza bweba yakuvaayo kuvunaana, bangi bejja okukwata. Ono ayongerako nti tewali Minisitule kyeyetaaga kunoonyerezaako kuba kano kabadde kabaga k’Abayizi akateereddwamu ssente Abazadde b’abayizi abagenda okutuula ebigezo byabwe ebyakamalirizo.
Onyango agamba nti emotoka abayizi zebatambuliddemu zabadde z’abazadde baabwe ababadde bagenze ku kabaga k’abaana baabwe. Era ayongerako nti kino kyakoleddwa nga abayizi b’ebibiina ebirala bali waka so ngate abayizi bangi ababadde ku kabaga nga tebabavugidde na mu motoka era nga tekyabayisizza bubi kulaba banaabwe nga baggira mu motoka ez’ebbeeyi wamu n’ennyonyi kuba bino tebyabadde byabuwaze.
Onyango ayongerako nti ekyabayizi okujja omuwala n’omulenzi tekirina wekitumbulira bukaba kuba kino kibadde kikolebwa emyaka gyonna mu masomero wabula nga Social media yegezaako okusiiga ekifaananyi ekyo.