Breaking
News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya twolekedde Akaseerezi era ku nnya ekiro lindirira enkabikkabi zabakontanyi nendukusa zaabwe nga News: Enkuba ekedde okutonnya etaataganyizza omulimu gwokutambuza ebigezo bya Siniya eyookuna. News: Hon. Zambaali Bulasio Mukasa
ON NOW Olutindo ▶ UP NEXT Simba Sports 8:00 PM - 9:00 PM
Now Playing · 496 listening Simba FM Live
olutindo show photo

On Air

Olutindo

Peter Kibazo - Evans Walusimbi

7:00 PM - 8:00 PM 7:00 PM - 8:00 PM

Waliwo abatusabiranga essaala baleme tuyimbula – Ssewanyana ne Ssegiriinya

April 3, 2023 · Mubiru Ali

Ababaka ba Palamenti Bannakibiina kya National Unity Platform – NUP Allan Ssewanyana owa Makindye West ne Muhammad Ssegiriinya owa Kawempe North olunaku lw’eggulo beetabye mu kitambiro ky’emmisa eky’okwebaza Katonda okubawonya ekkomera lyebamalamu emyaka ebbiri ku misango egyekuusa ku bijambiya ebyali e Masaka mu mwaka 2021.

Mu kitambiro ky’emmisa ekyabadde ku Ekereziya ya St. Agnes e Makindye Ababaka bano balumbye abamu ku Babaka banaabwe bebagamba nti babadde bafuyirira kanwe mbu baleme kuyimbulwa basobole okweddiza ebifo byaabwe.