waliwo abansasula okuvuma museveni – bad black

Shanita Namuyimbwa nga amanyiddwa nga Bad Black alabiseeko ku kitebe kya Poliisi ekinoonyereza ku misango ekya CID ku bigambibwa nti yavuma omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni mu katambi ka Video.
Bad Black yatuuse ku kitebe kya CID e Kibuli ku ssaawa ssatu ez’okumakya nga awerekeddwako munnamateeka we Julius Galisonga. Ono atwaliddwa mu kitongole kya Media Crimes Directorate nakunyunyizibwa bambega babiri ku katambi keyafulumya mu August wa 2018 mu kadde omubaka wa Kyaddondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine bweyali akuumirwa mu nkambi ya Military e Makindye ku misango egyekuusa ku kulya mu nsi ye olukwe.
Bad Black bweyali agezaako okuwakanya ekya Bobi Wine okukuba emotoka ya Pulezidenti ejjinja yatuuka navuma omukulembeze w’eggwanga ebigambo ebitayisika mu kamwa .
Ono mukukunyizibwa kw’amazeemu essaawa 5 ateegezezza bambega nti yasasulwa okufulumya akatambi kano nga awolereza Bobi Wine wamu n’okuvuma Pulezidenti Museveni era neyetonda.
Omwogezi wa CID Vincent Ssekate avuddeyo nategeeza nti Bad Black yayitiddwa okukola sitatimenti era nateebwa ku Police Bond nga n’okunoonyereza bwekugenda mu maaso.

Zeen is a next generation WordPress theme. It’s powerful, beautifully designed and comes with everything you need to engage your visitors and increase conversions.

More Stories
Uganda ekuza olunaku lw’abakyala olw’ensi yonna.