Breaking
News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya yo tegaana kutinta nokuyigiriza ne leero ekiro ku nnya lindirira Abakontanyi nendukusa zaabwe nga News: Moses Bekabya yalimba ngamaze nokukuba ebirayiro ngakutte ekitabo ekitukuvu! News: Ekimotoka kyenkokoto ekya Hardware World kyabuddeko mixer neggwa eri olunaku lweggulo!
ON NOW Mukulikeeyo ▶ UP NEXT Emboozi Kafunda Live 6:00 PM - 7:00 PM
Now Playing ยท 268 listening Simba FM Live
mukulikeeyo show photo

On Air

Mukulikeeyo

Kasagazi Tumbeetu - Flosh

Evening show 4:00 PM - 6:00 PM
News

Waliwo abafere abawandiisa UNOC eyaabwe e Kenya

November 10, 2023 · Mubiru Ali
Akakiiko ka Palamenti akavunaanyizibwa kukulondoola obugagga obw’ensimbo kakitegeddeko nti waliwo abantu abamu mu Uganda abalina enteekateeka y’okuwandiisa Uganda National Oil Company Limited (UNOC) nga kkampuni eyaabwe kubwabwe eyobwannanyini mu Ggwanga lya Kenya ebeere nga yeyokka erina okuyingiza amafuta mu Uganda.
Omubaka akiikirira West Budama South Emmanuel Otaala agamba; “Simanyi oba mukimanyiiko naye nategeezeddwa nti UNOC eno eya Uganda siyeemu egezaako okuwangiisibwa okuleeta amafuta mu Ggwanga oba okugula amafuta okuva ku Vitol Bahrain olwo bagaguze Kkampuni z’amafuta mu Uganda. Ekituufu kiri nti UNOC ewandiisibwa e Kenya ya bantu buntu so ssi ya Gavumenti. Mulowooza emusaanye kukitunulamu.