BREAKING NEWS
Observer: Stanbic Pirates take control as Heathens face uphill battle in semis MBU: King Saha backs Portugal for 2026 World Cup, wants Ronaldo’s farewell triumph MBU: Kuseim The Baddest, Ayo Bassboi, and Chemical Ali Nicer share their proudest productions Observer: Focus turns to Ghana, DR Congo Pulse Uganda: Did former Miss Rwanda Jolly Mutesi scam Bebe Cool? Red Pepper: HUGE SCANDAL! Newplan Boss Omulen Cited In Fake Money Racket As 11 Are Caged Over Sh11bn ‘Industrial Park’ Land Scam Red Pepper: WAKISO DISTRICT IMPUNITY! Fired Worker Wins Sh36m Court Payout Pulse Uganda: Muhoozi called to go after Justice Baguma instead of Lukwago East News: SFC Soldiers Pick Up Former Kampala City Mayor, Elias Lukwago East News: Kabanda Sacked as PLU Secretary General

97.3 FM Kampala

92.1 FM Mubende

Ffe Mmwe Mmwe Ffe

✓ ISO 9001:2015 Certified

Now Playing
Radio Simba Live

Walagi woomu buveera abizaalidde bannannyini birabo – Maganjo

Police eyise bannannyini birabo by’omwenge abakakkalabiza mu Maganjo zzooni mu Munisipaali y’e Nansana mu Disitulikiti y’e Wakiso, olw’ebigambibwa nti waliwo abantu 11 abaafudde oluvannyuma lw’okwekatankira Walagi woomu buveera ssabbiiti bbiri emabega!! 

Emilian Kayima nga ono ye Mwogezi wa Police mu Kampala n’emiriraano,  agamba nti waliwo abamu ku bannannyini b’ebirabo  abaayitiddwa nebabuuzibwa akana n’akataano oba nga omwenge gwebatunda gwegwaviiriddeko abantu bano okugenda ezzirakumwa.

Agamba nti ab’enganda z’abagenzi bagamba nti abantu baabwe okufa baasoose kufuna kamunguluze,  okusesema n’okuziba amaaso. Agamba nti Police etandise okunonoyerereza ku nsonga eno.

Kayima ayongerako nti waliwo omwenge ogwajjiddwa mu bifo bino negutwalibwa mu Laboratory ya Gavumenti okwongera okwekebejjebwa.

Kino kijjidde mu kiseera nga ne mu mwaka gwa 2014 abantu abawerera ddala 50 baafa ku muliraano e Kenya oluvannyuma lw’okunywa omwenge gwomu buveera ate abawerako baaweebwa ebitanda nebaziba n’amaaso.

About Mubiru Ali

Radio Simba News Team — Broadcasting from Kampala, Uganda on 97.3 FM and online at www.radiosimba.ug

Leave a Reply