Breaking
News: Okwewandiisa mu Ngule kwaguddwawo e Bukoto ku Simba ate kwabwereere. News: IGG agudde emisango ku Chris Obore ne banne abalala 6 era nasaba basindikubwe mu Kkooti Enkulu bavunaanibwe emisango egyekuusa ku bukenuzi News: Awali Omukka-Ssewandagi-Balaam okuswaza Nameere Omuganda ogenderera ki? Obikola eno ate e Bunyoro?
ON NOW Neyimbira Byange 2026
Now Playing · 190 listening Simba FM Live
neyimbira show photo

On Air

Neyimbira Byange 2026

Jimmex - Sula - Liana

Luganda quick 9:00 PM - 12:00 AM

Wakiso ekwata kyakubiri mu kuba n’emmundu mu bukyamu

March 1, 2017 · Mubiru Ali

Disitulikiti y’e Wakiso eteereddwa mu kifo kyakubiri mu kuba n’emmudu ate ennyingi eziri mu mikono emikyamu nga ekulemberwa Karamoja.

RDC ,  Eng. Ian Kyeyune nga yaakulira ebyokwerinda mu Disitulikiti eno,akkirizza nga ddala Wakiso ejjudde emmundu eziri mu mikono emikyamu so nga ate eriraanye ekibuga ekikulu eky’eggwanga era nga kyetaagisa okuddamu okuwandiisa buli agirina yenna mu mateeka ate n’abatali mu mateeka .

Kyeyune agamba nti wakati mu bumenyi bw’amateeka obuyitiridde, Disitulikiti y’e Wakiso eteekwa okukulaakulana n’olwekyo anaagezaako okwebalama enteekateeka y’okumalawo emmundu enkyamu,  ebinaddirira yeenenyanga yekka.