Breaking
News: Gaagano amawanga gabantu nga go gasinga kwagala basajja baavu okuwasa bawala baabwe kuba abasajja abaavu balina kye babafunamu ekinene ennyo. News: Gasimbagane-Rwomushana-Buli yegaanye nti tamanyi Muwanga gyali Kati yavuddewa? Yeyetutte ku Poliisi? News: Ku Mutoto Cultural Centre batongozza okusala Imbalu omwaka guno nga kino kyakukolebwa okutuusa December.
▶ UP NEXT Lutaba Njaliire 4:00 PM - 8:00 PM
Now Playing · 238 listening Simba FM Live
News

Wagandya aleeteddwa ng’omujulizi wa Gavumenti mu gwokulya enguzi

August 2, 2024 · Mubiru Ali

Ssentebe w’Akakiiko akalera eddembe lyobuntu mu Ggwanga aka Uganda Human Rights Commission – UHRC Mariam Wangadya olunaku olwaleero aleeteddwa ng’omujulizi asooka mu Kkooti ewozesa abalyake n’abakenuzi okuwa obujulizi ku Babaka Bannakibiina kya National Resistance Movement – NRM 3 okuli; Cissy Namujju Dionizia , Paul Akamba ne Yusuf Mutembuli abavunaanibwa emisango gy’okulya enguzi nga kigambibwa nti bano bamusaba ebitundu 20 ku 100 ku nsimbi ekitongole kye zekyasaba okuweebwa mu mwaka gw’ebyensimbi 2024/25 okusobola okugiyisa.