🚨 Wabaddewo katemba atali musasulire mu Kkooti Enkule e Wakiso Munnakibiina ki National Resistance Movement – NRM Hajji Abdul Kiyimba eyatwalayo omusango ngawakanya obuwanguzi bwa Magoola Emmanuel Matovu ku kifo ky’Omubaka wa Busiro East, Kiyimba bwasabye Omulamuzi George Okello awe obujulizi bwe mu Luganda kuba tasobola kwogera Lungereza yadde nga yatuula Siniya eyomukaaga.
Kiyimba era ayongedde okwetema engalike bwategeezezza nti ebigezo bya S.6 byonna yabituula mu lunaku lumu.
Bya Christina Nabatanzi
🌐 Soma ebipya: https://www.radiosimba.ug

