ura esabye ekitongole bwebakola omulimu gwegumu e rwanda kikirize emotoka ziyingire

Ekitongole ekivunaanyizibwa kukusolooza omusolo mu Ggwanga ekya Uganda Revenue Authority kiraajanidde kinaakyo bwebakola omulimu gwegumu mu Ggwanga lya Rwanda okukiriza emotoka ezettisse ebyamaguzi ku nsalo y’e Gatuna kuba tekikola makulu emotoka zino okukyuuka okudda n’ebyamaguzi.
Commissioner mu URA Dicksons Kateshumbwa agamba nti loole 10 nga zansi y’e Rwanda, 47 nga za Uganda, 37 za Kenya n’endala 9 za Burundi nga zamaze okuteebwa ab’ekitongole ky’emisolo eky’e Rwanda zezikyagaaniddwa okusala ensalo so nga zettisse ebirime nga emiyembe, emmere nga muwogo, ebyenyanja wamu n’ezo ezettisse amafuta.

Zeen is a next generation WordPress theme. It’s powerful, beautifully designed and comes with everything you need to engage your visitors and increase conversions.

More Stories
unra etandise okuddaabiriza oluguudo lw’e masaka mu lwera