URA emotoka ya Bobi Wine mwemwagiwandiisa – Bannamateeka be

Pinterest LinkedIn Tumblr +
EMOTOKA YA BOBI WINE URA EGYESONYIWE:
Bannamateeka ba Hon. Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine aba Wameli & Company Advocates bavuddeyo nebawandiikira Commissioner Customs mu Kitongole ekivunaanyizibwa kukusolooza emisolo ekya Uganda Revenue Authority (URA) nga bawakanya ekyokuddamu okwekebejja emotoka y’omuntu waabwe.
Bano bagamba nti wadde URA erina obuyinza okwekebejja ebyamaguzi byonna, terina buyinza bwakuddamu kwekebejja byamaguzi ebyali mu mikono gya URA mu kibanda ekiri mu mateeka, nga byekebejjebwa nebisasula emisolo egyagerekebwa mu butuufu bwagyo, era nannyini byo nasasula emisolo gyabyo mu butuufu bwagyo.
Bano bagamba nti URA okutumya emotoka eno tekimenya mateeka kyokka wabula kiyingirira n’eddembe lye ng’omuntu.
Share.

Leave A Reply