Breaking
News: Olutindo -Kalanzi- Abasajja tebalina kisa, bakuba akaana kange oluyi olwokubuuza lwaki bankuba! News: Omuyambi wa Rtd. Col. Dr. Kizza Besigye bwebavunaanibwa mu Kkooti Enkulu, Hajj. News: Ekitongole ekivunaanyizibwa ku kusolooza omusolo mu Ggwanga ekya Uganda Revenue Authority URA kyavuddeyo nekyanika omukozi wakyo, Sozzi Geoffrey
ON NOW Tokammalirawo ▶ UP NEXT Mukulikeeyo 4:00 PM - 6:00 PM
Now Playing ยท 319 listening Simba FM Live
tokammalirawo show photo

On Air

Tokammalirawo

Sureman Segawa

2:00 PM - 4:00 PM 2:00 PM - 4:00 PM

ura ekutte bannansi ba vietnam

March 4, 2019 · Mubiru Ali

Ekitongole ekisolooza ky’omusolo nga kiyita mu kitongole kyakyo ekirwanyisa okukusa ebintu okubiyingiza wamu n’okubirulumya eggwanga ku kisaawe ky’ennyonyi Entebe kyakutte Bannansi ba Vietnam babiri okuli Nguyen Van Thanh ne Dinh Van Chung nga babagye ku nnyonyi ya Qatar Airways bwababadde bagezaako okudduka mu ggwanga.
Bano bebamu ku kibinja ky’abantu 18 abanoonyezebwa ku byekuusa kukusa amasanga agakwatibwa gyebuvuddeko, kati omuyiggo gw’abalala 16 kukyagenda mu maaso era nga URA egamba oyo yenna alina amawulire agayinza okuyamba okubafuna wakwewangulira ekirabo ky’amaanyi ddala.
Kigambibwa nti bano babadde mu Ggwanga nga bakukusa amasanga okumala emyaka 3 era nga babadde ne Ware House e Kyebando mu Kawempe wamu n’ennyumba e Bugoloobi.
Kinnajukirwa nti URA yabowa trailer eyali ejjudde amasanga nga gabalirirwamu obuwumbi14 mu ssente za Yuganda.