Breaking
News: Bano tebatumalira budde tebali ku mutindo gwa Ngule. JJ agobye abakontanyi ebibuuzo bibalamye! News: Bano Engule ya Radio Simba bajja kugirojja obulamu bwonna! News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya teggwa kutinta ne leero girindirire ku nnya ekiro ngabakontanyi nendukusa zaabwe nga bafaafaagana
ON NOW Neyimbira Byange 2026
Now Playing · 469 listening Simba FM Live
neyimbira show photo

On Air

Neyimbira Byange 2026

Jimmex - Sula - Liana

Luganda quick 9:00 PM - 12:00 AM
News

URA ekutte ababadde bakukusa sigala

January 27, 2024 · Mubiru Ali

Omwogezi w’ekitongole ekivunaanyizibwa kukuwooza omusolo mu Ggwanga ekya Uganda Revenue Authority (URA) Ibrahim Bbosa ategeezezza nti bakutte abantu 4 ku bigambibwa nti babadde bakukusa bbokisi za sigala 64 nga ono abalirirwamu obukadde 140 nga bano babakwatidde ku kyalo Ssenge, mu Muluka gw’e Naluvule mu Disitulikiti y’e Wakiso. Sigala ono yayingiziddwa mu Ggwanga nga bamuyisa mu panya okumutuusa e Ssenge.
Abakwatiddwa basangiddwa ne bokisi za sigala atakirizibwa mu Uganda ekika aya ORIS Slims bokisi 59 ceza Platinum Seven 5. Emotoka 3 ezabadde zikozesebwa okukusa sigala ono zakwatiddwa nga kuliko; Toyota Vitz nnamba UBN 404Y, Super Custom nnamba UBA 683G ne Subaru Forester UBK 718X.
URA egamba nti batemezeddwako nti waliwo ennyumba gyebatereka sigala omukukuse nga balindirira okumutwala mu Kampala okumutunda. Kigambibwa nti abakwate bagezezzaako okuwa aba URA enguzi ya bukadde 10 babaleke wabula nebabakwata ne ssente nebazitwala.