Breaking
News: Munnamateeka Kenneth Paul Kakande ……..Hon. News: Oyo yenna aneetaba mu Ngule tosigalira, jangu nendukusa yo e Bukoto ku Simba mwewandiise. News: Luggya Bossa Tabula amaziga gamuyiseemu oluvannyuma lwomulamuzi okubasingisa omusango ye ne kizibwe we Luggya Noah omusango gwokutta eyali Omukulu
ON NOW Simba Sports ▶ UP NEXT Ekiggunda 8:00 PM - 12:00 AM
Now Playing · 183 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Sports

Commentary Team

2:00 PM - 8:00 PM 2:00 PM - 8:00 PM

UPDF yakuwumuza ba General 11

June 28, 2018 · Mubiru Ali

Eggye ly’eggwanga erya UPDF liwumuza abasirikale abali ku ddaala lya Brigadier ne Major Genera. Lt. Gen. Wilson Mbadi nga ye mu myuka wa Chief of Defence Forces yeyabadde omugenyi omukulu kukabaga akasiibula Maj. Gen. Hussein Adda nga ono akoledde eggye ly’eggwanga okumala ebbanga ddene.

Maj. Gen. Mbadi yagambye nti kano kabonero kalungi eri abo ababadde bagamba nti UPDF tewumuza Basirikale bakulu. Mubasuubirwa okumuzibwa mwemuli Brig Yowasi Kizza, Maj Gen Kasirye Gwanga, Maj Gen Joshua Masaba, Maj Gen James Ssebagala.
Maj Gen Adda yabadde Camp Commandant wa Barracks ye Bombo okuva 1997 era nga abadde mu maggye okumala emyaka 55. Mu bigambo bye ebisiibula Maj. Gen. Adda yagambye nti musanyuffu okuwumula era nasaba abantu be Bombo okukolagana obulungi n’amaggye nga bwebabadde era tebenyamira olw’okuba awumudde.