Breaking
News: Omulamuzi wa Kkooti Enkulu Alex Ajiiji abadde mu mitambo gyOmusango gwabatta Suzan Magara avuddeyo nasiima Ssaabaduumizi wa Uganda Police Force News: Kkooti Enkulu mu Kampala esalidde Hajarah Nakandi ne Buwembo Musa aka Abas ekibonerezo kyakuttibwa lwakuwamba ne batta Susan Magara 28. Abantu News: Olunaku olwaleero Ababaka ba Palamenti abatuula ku Kakiiko ka Palamenti akavunaanyizibwa ku byokwerinda bakunyizza abakungu okuva mu bitongole bya
ON NOW Emambya ESaze ▶ UP NEXT Binsangawano 6:00 AM - 10:00 AM
Now Playing · 224 listening Simba FM Live
emambya show photo

On Air

Emambya ESaze

Kakos Soldier

Waking you up very early, with thrilling stories… 4:00 AM - 7:00 AM

UPDF ne Poliisi bakubye ababbi 2 amasasi e Bulenga

May 25, 2022 · Mubiru Ali
Amyuuka omwogezi wa Uganda Police Force owa Kampala Metropolitan Police ASP Luke Owoyesigyire avuddeyo nategeeza nga abebyokwerinda mu Disitulikiti y’e Wakiso nga bakulembeddwa eggye lya UPDF e Buelnga bakubye abavubuka amasasi agabalumizza nga bano bateeberezebwa oku kubamu ku kibinja ky’abebijambiya ababadde batigomya abantu.
Luke agamba nti zabadde ssaawa nga 7 ogw’ekiro abazigu bano nebalumba amaka g’omu ku batuuze ategeerekese nti ye Ssempijja Bruno nebamutemaatema nebamunyagako essimu ya Huawei, bano olwavudde wano kwekulumba abapangisa ku nnyumba z’omukyala Gladesi Mugerwa Poliisi eyabadde erawuna ekitundu gyeyabasanze lubona nga banyaga abapangisa. Bano baabafubutudde nebabakubamu ebyasi ebyakwasizzaako babiri abalala babiri nebadduka.
Luke agamba nti bano abalumiziddwa batwaliddwa mu Ddwaliro okufuna obujanjabi nga bategeerekese omu ye Kato Joseph ne Kabale Sula nga batuuze b’e Kikaaya Bulenga. Bano bawadde Poliisi ebikwata ku banaabwe abadduse era omuyiggo gutandise.