UPDF eyambye okutambuza kubalumiziddwa mu kabenje e Kiryandongo

UPDF eyambyeeko okutambuza abalumiziddwa mu kabanje akaguddewo ekiro ekyayise e Kiryandongo nga ekozesa Ennyonyi y’amagye eya namunkanga okubaleeta mu ddwaliiro e Mulago.

Akabenje kano kaguddewo ku ssaawa nga bbiri ez’ekiro bus ya kkampuni ya Gaaga nga eno yabadde eva Lira nga edda e Kampala bwe yatomereganye ne Tractor eyabadde terina ttaala nalimu lyaka yadde refelector bwetyo neremerera omugoba waayo netomeregana ne Trailer ya beer.

Omwogezi wa poliisi mu kitundu kya Albertine Allan Julius Hakiza, Regional Traffic officer Irene Chelengat ne Regional Police Commander Deo Obura  abatuuse mu kifo kino bagamba nti  omuvuzi wa tractor yeyavuddeko akabenje kano, era nebongerako nti n’omugoba wa bus yabadde adduka nnyo.

Zeen is a next generation WordPress theme. It’s powerful, beautifully designed and comes with everything you need to engage your visitors and increase conversions.

More Stories
Mabiriizi addukidde mu kkooti ensukulumu