Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule yanguwako ngobudde bukyaliyo tukulinze wano ku simba e Bukoto okiikirire ekika kyo News: Nekigendererwa ekyokukendeeza obubenje ku nguudo, Uganda Police Force evunaanyuzibwa ku bidduka ngeri wamu nabakungu okuva mu Minisitule News: Luggya Bossa Tabula ne kizibwe we Luggya Noah bakirizza omusango gwokutta eyali akulira ekika kyEndiga Lwomwa omubuze Eng. Kakeedo Bbosa Luggya mu
ON NOW Binsangawano ▶ UP NEXT Simba Taxi 10:00 AM - 1:00 PM
Now Playing · 909 listening Simba FM Live
binsangawano show photo

On Air

Binsangawano

Ndausi - Julius Kidomole - Mbabali

Morning show 6:00 AM - 10:00 AM

UPDF esaanyizzaawo ebyokulwanyisa ebikadde

April 17, 2018 · Mubiru Ali

Eggye lya UPDF lisaanyizzaawo eby’okulwanyisa ebiweza ttoni 89 ebikadde ebibadde eby’obulabe eri banna Uganda.

Akuliddemu enteekateeka eno Brigadier Solomon Amanya, ku mukolo ogw’okwokya amasasi, bbomu n’emmundu ogubadde mu nkambi y’amagye eya Kabamba e Mubende ategezezza nti kino bakikoze kubanga eby’okulwanyisa eby’engeri eno bibeera tebirina mugaso eri UPDF ate nga bya bulabe.

Bridger Solomon Amanya ategeezezza nti eby’okulwanyisa bino ebiweza ttani 89 babikunnganyizza okuva mu  bitundu bya Yuganda eby’enjawulo ewali enkambi z’amagye ga UPDF.