Breaking
News: Gasimbagane-Rwomushana-M7 atuleetera ebizibu atukaka system yAbazungu! Balaam amanye omulimu ggwe! News: Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II buli lwalabikako eri abantu be liba ssanyu gyereere! News: Mmeeya wa Nansana Municipality Sserunkuuma JohnBosco olunaku olwaleero asisinkanye abasuubuzi bo mu Katale ka Nansana Daily Market, ku Masitowa,
▶ UP NEXT Gospel Show 7:00 AM - 9:00 AM
Now Playing ยท 184 listening Simba FM Live

UPDF EKUTTE LUMIRAMWOYO E PADER

August 27, 2021 · Mubiru Ali
Omwogezi w’eggye lya UPDF Brig. Gen. Flavia Byekwaso avuddeyo nategeeza nga bwebakutte omuvubuka ategeerekese nga ye Katumba Abdul aka Ben agambibwa okuba lumiramyoyo abadde nekigendererwa ekyokutulisa bbomu e Pader mu kuziika abadde omumyuuka w’omuduumizi wa Uganda Police Force DIGP Maj. Gen. Paul Lokech.
Katumba yagiddwa mu Mikicha Guest House, nasangibwa n’ebintu ebikozesebwa mu kukola bbomu engiye.
Brig. Gen. Byekwaso agamba nti banne abali mu lukwe luno babategedde wadde tebanakwatibwa naye batandise okubanoonya.