Breaking
News: Eggwanga lyabantu eritawena, omusajja yenna okuwasaayo omukazi alina kutwalayo musota singa gumulema okuwaayo omukazi aba amusubiddwa. News: Gasimbagane-Rwomushana-Ku mwenge Balaam atuuse wayabikira, byakola biweddeyo. Express way saga….. News: Ba Directors, Management nAbakozi ba Radio Simba tutuusa okusaasira kwaffe eri abenju ya Alex Mukulu atuvudde ku maaso.
ON NOW Awali Omukka
Now Playing Simba FM Live
awali show photo

On Air

Awali Omukka

Prossy Kyeswa

Talk Show 9:00 PM - 12:00 AM

UPDF egenda kutandika okuwozesa Omusirikale waayo eyatta abantu 3

August 9, 2018 · Mubiru Ali

Lance Corporal, Geoffrey Odaga eyatta abantu 3 ababulijjo mu bbaala emu mu Kabedo-Opong trading centre mu Division y’e Badege mu municipality y’e Gulu amaggye agasazeewo gamuwozeseze mu lujjudde.

Ekkooti y’amaggye ebadde abasirikale ebawozeseza Makindye mu kkooti yaayo naye ono ye esazeewo emuwozeseze mu lujjudde e Gulu nga n’abatuuze balaba okutandika leero okumala enaku 5.

Omwogezi w’amaggye ga UPDF Brig. Richard Karemire akakasiza ensonga eno. Kinajukirwa nti Odaga nga wa UPDF mu kibinja eky’okuna e Gulu yagenda mu bbaala ku ssaawa nga ttaano ez’ekiro nabba ssente ezitanamanyika muwendo wamu n’omwenge oluvannyuma n’akuba amasasi mu bantu abaali banywa omwenge. Wabula oluvannyuma yasangibwa yebase oluvannyuma lw’okunywa omwenge omungi era nakwatibwa.