Breaking
News: Chairperson wa UWOPA Agnes Auna avuddeyo nategeeza nga bwatagenda kutiisitiisibwa Kabanda. News: Abakungu okuva mu Immigration bavuddeyo nebakakasa nga Munnamateeka era omulwanirizi weddembe Aloikin Praise Opoloje bweyakwatiddwa ku kisaawe News: Abanoonyi bobuddamu bakedde kwekalakaasiza ku kitebe kyAmawanga amagatte ekivunaanyizibwa ku banoonyi bobuddamu ekya United Nations High
ON NOW Tokammalirawo ▶ UP NEXT Mukulikeeyo 4:00 PM - 6:00 PM
Now Playing · 131 listening Simba FM Live
tokammalirawo show photo

On Air

Tokammalirawo

Sureman Segawa

2:00 PM - 4:00 PM 2:00 PM - 4:00 PM

UPDF egenda Congo kulwanyisa bayeekera

August 5, 2016 · Mubiru Ali

Omukulembeze w’eggwanga lyattu Yuganda Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni agamba nti mweteefuteefu okusindika eggye lya UPDF ku muliraano mu Democratic Republic eya Congo okuba nga balwanyisa abayeekera b’ekiwayi kya M23  abafumbekede mu ggwanga lino.

Okwogera bino Pulezidenti Museveni abadde mu lukungaana lwa bannamawulire olw’awamu ne Pulezidenti wa Congo Joseph Kabila nga bino bibadde Mweya Safari Lodge ekissangibwa mu Disitulikiti y’e Kasese akawungeezi akayise .

Museveni agamba nti eggwanga Yuganda lyeteefuteefu okusindikayo abajaasi bwekiba nga basabiddwa eggwanga lya Congo.

Pulezidenti Kabira bw’abuuziddwa ku ky’okulwawo okutegeka akalulu k’obwa Pulezidenti n’agamba nti kaakubeerawo ng’eggwanga limaze okuwandiisa abalonzi bonna .