Breaking
News: Musveni toli mubi nnyo okutuuka ku ssa eryo, naye tukukolere ki otuviire mu mirembe Ssebo – Abdallah News: Mukulu Odonga Otto CV nga nnene gyataddewo, kati ayagala Hon. Daudi Kabanda ayanukule ki? News: Gen. Kahinda Otafiire Lwakiri nfiira ku magulu nga nnwana okusinga okuwangaalira ku maviivi gange nga nsaabiriza….
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing · 187 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM
News

UNHR egaddewo ekitebe kyaayo mu Uganda – Chief Volker Turk

August 6, 2023 · Mubiru Ali
Akakiiko k’ekibiina ky’Amawanga amagatte akalera eddembe ly’obuntu aka United Nations Human Rights kalangiridde nga bwekaggaddewo ekitebe kyaako mu Uganda oluvannyuma lwa Gavumenti okugaana okuzza obuggya endaŋŋaano kwekakolera. Kino kibikkuddwa akakulira Volker Türk eggulo mu Kampala nti eno bagigasse ku woofiisi y’e Gulu ne Moroto ezaggalwa mu June ne July.
Kinajjukirwa nti bano baasowagana ne Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni nga abalumiriza okubaamu kyekubiira nga batunuulira ensonga nagaana okuzza endaŋŋaano yaabwe obuggya.