Breaking
News: Aneewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso buli lunaku e Bukoto ku Simba. News: Abantu 4 abagambibwa okutta eyali omuduumizi wa Kkiraabu ya SC Villa David Owor, baleeteddwa ku Kkooti yOmulamuzi we Makindye okusomerwa emisango News: Olutindo -Balimwezo-Waliwo Omubaka wa Palamenti eyali yawamba ettaka lyessomero! Wewuunye abantu!
▶ UP NEXT Wolokoso 9:00 AM - 10:00 AM
Now Playing ยท 605 listening Simba FM Live

UNBS ezaanyizzaawo ebintu bya buwumbi ebitatuukana na mutindo

June 19, 2020 · Mubiru Ali

Ekitongole ekivunaanyizibwa ku mutindo gw’ebintu mu Ggwanga ekya Uganda National Bureau of Standards – UNBS kivuddeyo nekisaanyawo ebintu ebiwereza ddala metric tonnes 232 ebitatuukana namutindo nga bibalirirwamu obuwumbi bubiri n’ekitundu.
Ebintu ebisaanyiziddwawo mulimu; emmere, amabaati, ebizigo, sseminti, emifaliso, toilet paper, obuveera, ebyamasanyalaze, omwenge n’ebirala.
Bino byonna byakwatibwa mu bikwekweto ebyakolebwa okwetoloola eggwanga lyonna mu mwaka gw’ebyensimbi 2019/2020.