Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule yanguwako ngobudde bukyaliyo tukulinze wano ku simba e Bukoto okiikirire ekika kyo News: Nekigendererwa ekyokukendeeza obubenje ku nguudo, Uganda Police Force evunaanyuzibwa ku bidduka ngeri wamu nabakungu okuva mu Minisitule News: Luggya Bossa Tabula ne kizibwe we Luggya Noah bakirizza omusango gwokutta eyali akulira ekika kyEndiga Lwomwa omubuze Eng. Kakeedo Bbosa Luggya mu
ON NOW Tokammalirawo ▶ UP NEXT Mukulikeeyo 4:00 PM - 6:00 PM
Now Playing ยท 437 listening Simba FM Live
tokammalirawo show photo

On Air

Tokammalirawo

Sureman Segawa

2:00 PM - 4:00 PM 2:00 PM - 4:00 PM

Uganda Railways Corporation yeddizza okuddukanya eggaali y’omukka

January 30, 2018 · Mubiru Ali

Ekitongole ekya Uganda Railways Corporation kyaddaaki kyeddizza okuddukanya Kkampuni y'eggaali y'omukka nga kigiggya ku Rift Valley Railways Limited esimbye amakanda mu Kenya. 

Ekiwandiiko ekyassiddwako omukono gwa Charles Kateeba Managing Director wa Uganda Railways Corporation kigamba nti emigugu n'ebyabasaabaze byonna bizze mu kitongole ekya Uganda Railways Corporation 

Kino kyakkaanyizibwako oluvannyuma lwa Gavumenti ya Yuganda okusalawo okuyimiriza endagaano gyeyali ekkaanyizzaako ne Kkampuni eno nga ne gginaayo eya Kenya bweyakola bwebaali ab'okuddukanya oluguudo lw'eggaali y'omukka okuva e Kenya okudda mu Yuganda kumala emyaka 25 nga luno luweza kkiromita enkumi bbiri mu bisatu mu ataano mu ssatu.