Breaking
News: Omulamuzi wa Kkooti Enkulu Alex Ajiiji abadde mu mitambo gyOmusango gwabatta Suzan Magara avuddeyo nasiima Ssaabaduumizi wa Uganda Police Force News: Kkooti Enkulu mu Kampala esalidde Hajarah Nakandi ne Buwembo Musa aka Abas ekibonerezo kyakuttibwa lwakuwamba ne batta Susan Magara 28. Abantu News: Olunaku olwaleero Ababaka ba Palamenti abatuula ku Kakiiko ka Palamenti akavunaanyizibwa ku byokwerinda bakunyizza abakungu okuva mu bitongole bya
ON NOW Emboozi Kafunda Live ▶ UP NEXT Olutindo 7:00 PM - 8:00 PM
Now Playing ยท 303 listening Simba FM Live
emboozi show photo

On Air

Emboozi Kafunda Live

Kalebule

6:00 PM - 7:00 PM 6:00 PM - 7:00 PM
News

Uganda Prisons eyagala ssente kuzimba makomera malala

December 10, 2023 · Mubiru Ali
Elly Muhumuza, Commissioner Planning & Development, owa Uganda Prisons Service ategeezezza akakiiko ka Palamenti nti Eggwanga lyetaaga okuzimbayo amakomera amatonotono (mini-max) agalinga Kitalya 16 okusobola okukendeeza ku mujjuzo oguli mu makomera. Muhumuza agamba nti amakomera mangi galina abasibe abakubisaamu emirundi 5 abo abalina okusibirwamu.
Ono agamba nti okumalawo kino balina okutwala enkola ya Kitalya mu maaso nga bazimba lwakiri amakomera 16 amaggya nga buli kitundu kirimu ekkomera erisobola okubeeramu abasibe 4000.
Muhumuza ategeezezza akakiiko ka Palamenti akavunaanyizibwa ku nsonga zomunda mu Ggwanga nti buli kkomera eryo limalawo obuwimbi 102 n’obukadde 900 okulizimba.