Breaking
News: Aneewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso buli lunaku e Bukoto ku Simba. News: Abantu 4 abagambibwa okutta eyali omuduumizi wa Kkiraabu ya SC Villa David Owor, baleeteddwa ku Kkooti yOmulamuzi we Makindye okusomerwa emisango News: Olutindo -Balimwezo-Waliwo Omubaka wa Palamenti eyali yawamba ettaka lyessomero! Wewuunye abantu!
ON NOW Mukulikeeyo ▶ UP NEXT Emboozi Kafunda Live 6:00 PM - 7:00 PM
Now Playing ยท 264 listening Simba FM Live
mukulikeeyo show photo

On Air

Mukulikeeyo

Kasagazi Tumbeetu - Flosh

Evening show 4:00 PM - 6:00 PM

Uganda Police Force yetondedde Obwakabaka olw’okukuba teargas mu mukolo gw’Ekika ky’Embogo e Mugulu Ssingo.

October 21, 2020 · Mubiru Ali
Uganda Police Force yetondedde Obwakabaka olw’okukuba teargas mu mukolo gw’Ekika ky’Embogo e Mugulu Ssingo.
Avunaanyizibwa ku by’obufuzi n’omuntu wa bulijjo Afande Hassan Kasingye yakulembeddemu ekibinja ekisisinkanye Katikkiro Charles Peter Mayiga ku Bulange.
Basabye Obwakabaka bubasonyiwe kwebyo ebyaliwo era basuubizza okubonereza omusirikale eyaduumira ekikolwa ky’okukuba omukka ogubalagala mu bantu abaali bakungaanye okwebaza Katonda olw’obuweereza bw’omutaka Kayiira Gajuule bweyamala nga yemukubiriza w’olukiiko lwa Bajjaja Abataka.
Katikkiro alaze obwennyamivu olw’ebikolwa bya Poliisi ebityoboola eddembe ly’obuntu ebyeyongedde ensangi zino. Asabye abasirikale abeetaba mu kikolwa kino babonerezebwe.