🚨 Uganda Police Force e Kasanganti ekutte omusirikale waayo omukyala okuva mu kitongole ky’amaka n’abaana Corporal Mukolerwa Fatina nga bamulanga kusiwuuka mpisa bweyavuddeyo nafulumya akatamno nganenya Omuduumizi wa Kampala Metropolitan ACP Emitu Ezekiel Ebapu olwokuvaayo nalagira bayimbule omusibe eyamukuba bwebaali bagenze okumukwata oluvannyuma lwomuwaabo wa Gavumenti okulagibwa akwatibwe.
Mu katambi kano Mukolerwa annyonnyola nti yabadde ku musango gwobutabanguko mu maka ogwawaabwa mu 2023 neguteekebwa mu fayiro ku Poliisi e Kasangati ku fayiro nnamba CRB70/2024.
🌐 Soma ebipya: https://www.radiosimba.ug

