Breaking
News: IGG agudde emisango ku Chris Obore ne banne abalala 6 era nasaba basindikubwe mu Kkooti Enkulu bavunaanibwe emisango egyekuusa ku bukenuzi News: Awali Omukka-Ssewandagi-Balaam okuswaza Nameere Omuganda ogenderera ki? Obikola eno ate e Bunyoro? News: Yiino kkampuni ekoze tisaati ngomuntu ogyambalira omwezi gumu nga tagyozezza.
ON NOW Tokammalirawo ▶ UP NEXT Mukulikeeyo 4:00 PM - 6:00 PM
Now Playing · 319 listening Simba FM Live
tokammalirawo show photo

On Air

Tokammalirawo

Sureman Segawa

2:00 PM - 4:00 PM 2:00 PM - 4:00 PM

Uganda Cranes mu nsiike – Gabon

January 17, 2017 · Mubiru Ali

Akawungeezi ka leero ssaawa emu , enkalu zigenda kunoonya obukongovule nga ttiimu ya Uganda eya Uganda Cranes eyambalagana n’eya Ghana – The Black Stars mu kikopo ky’omupiira ekiwakanirwa amawanga g’olukalu lwa Africa e Gabon.

Wabula ye omutendesi wa ttiimu ya Ghana, Avram Grant agamba nti ttiimu ya Ghana ku luno nkambwe nnyo etegenda kusaagirwako songa n’omutendesi wa Uganda Cranes agamba nti ku luno bagenda kuggyayo n’agoomu buto okuwangula Ghana.

Yuganda esibidde mu bazannyi omuli  Dennis Onyango , Geofrey Masa, Joseph Ochaya,  Moses Oloya, Farouk Miya, Geoffrey Sserunkuuuma n’abalala.

Ekibinja kya Tiimu y’ebyemizannyo eya Luboggola egenda kuweereza omupiira guno butereevu  ku mpewo ng’ esinziira ku Rhino Pub e Nakasongola.