Breaking
News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya teggwa matendo etinta tinta ku abiri mu ettaano. News: Chairperson wa UWOPA Agnes Auna avuddeyo nategeeza nga bwatagenda kutiisitiisibwa Kabanda. News: Abakungu okuva mu Immigration bavuddeyo nebakakasa nga Munnamateeka era omulwanirizi weddembe Aloikin Praise Opoloje bweyakwatiddwa ku kisaawe
ON NOW Emambya ESaze ▶ UP NEXT Binsangawano 6:00 AM - 10:00 AM
Now Playing · 79 listening Simba FM Live
emambya show photo

On Air

Emambya ESaze

Kakos Soldier

Waking you up very early, with thrilling stories… 4:00 AM - 7:00 AM

Uganda Cranes ewuttudde Misiri 1-0

August 31, 2017 · Mubiru Ali

Bannayuganda mu buli kanyomero k’eggwanga bavulubanye essanyu akawungeezi ka leero, ttiimu y’eggwanga eya Uganda Cranes bw’ewuttudde ginnaayo eya Misiri ku ggoolo emu nga Misiri eyanjala ngalo mu kisaawe e Namboole ( Mandela National Stadium).

Ggoolo ya Yuganda eteebeddwa muyizi tasubwa waayo Emmanuel Okwi mu ddakiika eya 51 era nga omupiira gguno gwa bibinja ogw’okusunsulamu abo abaneetaba mu mpaka z’ekikopo ky’ensi yonna ezinaayindira mu ggwanga lya  Russia mu 2018.

Wetwogerera nga kati Uganda y’ekulembedde ekibinja n’obubonero musanvu(7), n’eddirirwa Misiri ( 6) , Ghana (1) ate Congo n’ekwebera nga ekwata mu lyampiki.  Uganda eddamu okusamba Misiri ewaayo ku Lw’okubiri lwa ssabbiiti ejja .