Breaking
News: Bano Engule ya Radio Simba bajja kugirojja obulamu bwonna! News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya teggwa kutinta ne leero girindirire ku nnya ekiro ngabakontanyi nendukusa zaabwe nga bafaafaagana News: Omumyuuka wa Sipiika wa Palamenti Thomas Tayebwa agamba nti lwakiri yesiga omulogo wenkuba ku kyalo okusinga enteebereza yobudde eweebwa
ON NOW Neyimbira Byange 2026
Now Playing ยท 472 listening Simba FM Live
neyimbira show photo

On Air

Neyimbira Byange 2026

Jimmex - Sula - Liana

Luganda quick 9:00 PM - 12:00 AM
News

UCDA eyagala obuwumbi 13 ebweyambise okuyigiriza abantu okunywa kaawa

January 23, 2024 · Mubiru Ali
Uganda Coffee Development Authority (UCDA) esaba obuwumbi bw’ensimbi 13.952 obwenyongereza bukozesebwe mu bintu ebirala ebyomugaso ebitateekebwamu nsimbi okuli; akawumbi 1.566 okutumbula emmwaanyi ya Uganda mu Ggwanga lya China, akawumbi 1.66Bn okutumbula emmwaanyi ya Uganda mu Middle East ne Maghreb, n’endala akawumbi 1.2 okuzimba coffee hub e Kyambogo okuyingiriza Bannayuganda okunywa kaawa.
Akakiiko ka Palamenti kewuunyizza ensimbi ezisabiddwa ku Uganda ekyalemereddwa n’okumatiza akatale ka China, nti era kyewuunyisa nti baagala akawumbi kamu okuyigiriza Bannayuganda okunywa kaawa.