Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule tukulinze wano e Bukoto ku Simba ennaku zonna. News: Eggwanga lyabantu eritawena, omusajja yenna okuwasaayo omukazi alina kutwalayo musota singa gumulema okuwaayo omukazi aba amusubiddwa. News: Gasimbagane-Rwomushana-Ku mwenge Balaam atuuse wayabikira, byakola biweddeyo. Express way saga…..
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing ยท 367 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM

UCC eweze Live Wire ku Spark Tv

October 22, 2021 · Mubiru Ali
Ekitongole ekivunaanyizibwa ku byempuliziganya mu Ggwanga ekya Uganda Communications Commission – UCC kivuddeyo nekitegeeza nga bwekiragidde SPARK TV eyimirize bunnambiro pulogulaamu yaayo eya Live Wire ku bigambibwa nti balemereddwa okugoberera ekiragiro ekyabaweereddwa okugikyuusa obudde bwebeerako.
UCC egamba nti nga 18 October 2021 yawandiikira emikutu gya TV 11 nga egiragira okukyuusa pulugulaamu zaazo ezeyorekeramu ebintu ebyekikulu zidde ku ssaawa nnya ezekiro oba ssaawa kumineemu ezokumakya okutandika n’olwokusatu lwa wiiki eno.
Wabula TV endala zagoberera ekiragiro kino, yo Spark TV mu bbaluwa gyayaddamu UCC nga 20 October 2021, yabategeeza nga Pulogulaamu yaabwe eya Live Wire bwetalina tteeka lyemenya nebagenda mu maaso nebagiteekayo.
UCC olunaku lweggulo yabawandiikidde ngebaragira okuyimiriza Pulogulaamu eno embagirawo okutuusa nga eno bagitadde mu budde bwebabalagira. Nga bagyeeko ekyokujeemera ekiragiro kya UCC Spark TV eragiddwa okuwaayo vidiyo za Pulogulaamu ya Live Wire okuva nga 1 September okutuusa nga 20 October 2021.