Twetonda olwabyonna Katikkiro – Hon. Betty Nambooze

Pinterest LinkedIn Tumblr +
Omubaka Nambòoze Betty Bakireke;”Ssekiboobo Alex Kigongo eyawumula ate natuffako mu ngeri yakibwatukira mu biseera by’omuggalo, olumbe lwe lwabiziddwa n’omusika natuuzibwa.
Eby’embi abavubuka abe kyejjo balinye mu waaya ekijjeko emizindalo Owomu Mbuga olusituuse bwati okwogerako eri Obuganda. Mwattu okufanana naffe omukulu asoose kuddayo n’atuula emizindalo giterezebwe…Bwegaba masanyalaze Generator etekebweko ng’abavubuka ba DJ beraga bwerazi….Mukuuma Ddamula alaabye emizindalo gyeremye kwekutegeeza ffe abatono ababadde bawulira nti tewali buziibu nga ne byokwogera bibadde ssi bingi kuba abamusoose okwogera omubadde n’omulabirizi ensonga enkulu nyingi babadde bazogeddeko.
Kyokka ate wabaddewo abalyolyomi ababityebeese nti okujjako emizindaalo kibadde kigenderere okulaga obutali bumattivu ku ngeri ensonga za Beene okujjanjabibwa gyezikwatiddwamu…Naye nze kino ssikiwagira.
Kyonna ekibaddewo,twetondedde nnyo Mukama waffe Katikkiro.”
Share.

Leave A Reply