Breaking
News: Katikkiro Charles Peter Mayiga Akawungeezi ka leero ŋŋenzeeko mu maka gomugenzi Alex Mukulu, okukubagiza abenju nabooluganda olwokuviibwako News: Olutindo -Kakande- Kivumbi tanatereera. Balaam tamanyi kyakola, kati awoze order mbu yali advise. News: Okwewandiisa mu Ngule kugenda mu maaso wano e Bukoto ku Simba. Tukulinze
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing · 520 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM

Twakutte abakozi befujjo aba NUP – Fred Enanga

December 31, 2020 · Mubiru Ali
Omwogezi wa Uganda Police Force CP Fred Enanga avuddeyo ku Bannakibiina kya National Unity Platform – NUP abakwatiddwa e Kalangala; “Oluvannyuma lw’ekikwekweto ekyakoleddwa nga 30-12-2020 okumalwo ebikolwa ebyokutwalira amateeka mu ngalo mukunoonya akalulu e Kalangala, abakungu mu kunoonyereza bagoddeko eri abakwate okukungaanya obujulizi.
Abantu abawerera ddala 90 abakola akakundi kabakozi b’efujjo okuva e Kampala bakwatiddwa e Kalangala gyebagiddwa nebatwalibwa e Masaka gyebagiddwako sitaatimenti kubigambibwa nti bakuma omuliro mu bantu okukola efujjo, okunyomoola ebiragiro, okukozesa obubi oluguudo, wamu n’ebikolwa ebyobulagajjavu ebiyinza okuvaako okusaasana kw’ekirwadde.
N’abantu abalala 26 okuva Kalangala nabo bakwatiddwa. Akakundi kano akakozi k’efujjo nga kakibiina kya NUP babadde bakolera mu kwerimba nga bakoze Gavumenti etali mu mateeka nga benyigira mu bikolwa ebitiisatiisa n’okumenya amateeka mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo. Ekikwekweto kino kyakoleddwa okukuuma Bannayuganda wamu n’okubayamba okubaggyamu abamenyi b’amateeka n’abakozi b’efujjo mu kaseera k’okulonda. Emotoka eziwerera ddala 6 ne piki piki 20 byebyakwatiddwa ng’ebizibiti.”