Breaking
News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya teggwa kutinta ne leero girindirire ku nnya ekiro ngabakontanyi nendukusa zaabwe nga bafaafaagana News: Omumyuuka wa Sipiika wa Palamenti Thomas Tayebwa agamba nti lwakiri yesiga omulogo wenkuba ku kyalo okusinga enteebereza yobudde eweebwa News: Abakozi bekitongole ekivunaanyizibwa ku kibuga Kampala ekya Kampala Capital City Authority
ON NOW Simba Sports ▶ UP NEXT Neyimbira Byange 2026 9:00 PM - 12:00 AM
Now Playing · 481 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Sports

Wooto Walusimbi - Nampala Yusuf

Evening Sports 8:00 PM - 9:00 PM
News

Twagala kulaba ku Ddwaliro lya Mbuya Military Hospital – Hon. Muwanga Kivumbi

March 6, 2024 · Mubiru Ali
Ssentebe w’Akakiiko ka PAC Munnakibiina kya National Unity Platform Hon. Muhammad Muwanga Kivumbi; “Mututte emyaka 6 okuzimba eddwaliro eryalina okumalirizibwa nga 31st-July-2020. Kino kitegeeza eddwaliro lyarina okumalirizibwa mu myaka 2 mwe mututte 6. Kkontulakita mwamwongera emyaka 3, tetulina ddwaliro. Webabalira ebitabo mu October 2023, mwali mumalirizza ebitundu 70 ku 100 so nga byalina kubeera 90 ku 100. Emirimu gyayimirira ne kkontulakita taliiwo ku site. Twagala tukyaleko mu kifo ekyo awazimbibwa eddwaliro lino. Tujja kubaayo ku ssaawa bbiri ezookumakya tukomewo wano fffenna mwanukule ebibuuzo ku ddwaliro.”
Bino abyogeredde mu Kakiiko ka Palamenti aka Public Accounts Committee bwabadde akunya abakungu okuva mu UPDF ngayagala banyonyole ku byafulumira mu Alipoota ya Auditor General ku nsonga za Mbuya Military Hospital, bweyayoleka nti kkutolakita yadduka ku site oluvannyuma lwokuweebwa obuwumbi 69 ku buwumbi 106.2 ezateekebwawo okuzimba eddwaliro lino.